Skip to main content

Watya singa obubakaobukozesebwa mu kukola ebyuma bikalimagezi bukuŋŋaanyizibwa wamu ne kiba ntibuli omu asobola okubufuna?

Open for Good esitula omutindo gw’obubaka obukuŋŋaanyizibwa obusobola okukozesebwa mu byuma bikalimagezi mu Afirika, Asiya, ne mu bitundu by’ensi ebirala

Ebbula ly’obubaka obusobola okufunibwa awamu era obw’omutindo omulungi obusobola okukozesebwa mu kukola ebyuma bikalimagezi kwe kumu ku kusoomooza okw’amaanyi okulemesezza obuyiiya mu bya tekinologiya mu Afirika ne mu Asiya. Eyo ye nsonga lwaki Open for Good essira eritadde ku kukuŋŋaanya obubaka obusobola okukozesebwa okukola ebyuma bikalimagezi ebituukana n’embeera mu Afirika, Asiya, ne mu bitundu by’ensi ebirala. Obubaka ng’obwo obutuukana n’embeera n’ebibuuzo ebikwata ku nkola y’ebyuma bikalimagezi bitera okubuusibwa amaaso abo ababunyisa tekinologiya mu bantu. N’olwekyo, Open for Good eteekawo embeera esobozesa okukwanaganya n’okugabana amagezi amalungi ageetaagisa.

Okwongera ku bungi bw’obubaka obukwata ku byuma bikalimagezi n’okukifuula ekyangu okubufuna

Okukuŋŋaanya obubaka obwetaagisa mu kukola ebyuma bikalimagezi

Ebiragiro ebikozesebwa mu byuma bikalimagezi ebitalina gwe bisosola

LTekinologiya atuukana n’embeera ayamba mu kusitula omutindo mu mpeereza z’abantu, okwongera okuleetawo enkulaakulana mu bitongole eby’obwa nnannyini, n’okutumbula enkulaakulana ez’omuggundu

Tutuuka tutya ku biruubirirwa byaffe?

1

Abo abali mu mukago guno bakakasa nti obubaka obukozesebwa mu byuma ebya tekinologiya bwangu okufuna.

Tukakasa nti obubaka obukozesebwa mu byuma bikalimagezi busobola okufunibwa buli omuera nti n’obubaka obupya bwongerwako.

2

Tuyamba mu kukwanaganya n’okugabana enkola ennungin’amagezi amalungi.

Tukuŋŋaanya wamu abantu okukubaganya ebirowoozoku bintu ebipya ebikwata ku bubaka obukuŋŋaanyiziddwan’ebintu ebipya ebikwata ku nkozesa y’ebyuma bikalimagezi, okuyamba mu kussaawo emitindo egiba gyetaagisa, n’okwogera ku byokulabirako ebirungi. [Manya ebisingawo]

3

Abo abali mu mukago guno bayamba abantu okwongera okumanyan’okutegeeraemiganyulo egiri mu kuba nti obubaka obukwata ku tekinologiya bwangu okufuna, butuukana n’embeera y’omu kitundu, n’okuba nti tebuliimu kyekubiira.

Open for Good kye ki?

Omukago gwaffe gwagala okumalawo ekimu ku bizibu ebiremesezza obuyiiya mu bya tekinologiya atuukana n’embeera z’ebitundu ebitali bimu: kizibu okuzuula obubaka obukwata ku bya tekinologiya obutuukana n’embeera ate nga bwa mutindo mulungi.

Eyo ye nsonga lwaki tuli bamalirivu okukakasa nti buli omu asobola okufuna obubaka obukwata ku kukola ebyuma bikalimagezi naye nga butuukana n’embeera era nga tebusosola mu bantu. Eyo ye nsonga lwaki abali mu mukago guno tuli bamalirivu okukuŋŋaanya awamu obubaka obwo bube nga busobola okufunibwa buli omu.